Omukutu Omutongole ogw'Ekika ky'Nvuma

Ekika ky'e Nvuma

Obubaka bwa Omuk. NJALAMPANDI IGNATIUS DEPUTY KATIKKIRO (DK1) OW’EKIKA KY’ ENVUMA

Okusooka neebaza Jjaja Omutaka Kyaddondo olw’okunnonda mu buweereza bw’ekika nga omumyuka wa Katikkiro okuva mu mwaka gwa 2009 n’okutuusa kati obulwadde bwa stroke lwe bwankwata mu mwezi gwa Apuli 2024 n’okutuusa kati.

Nasooka okuweereza ne Katikkiro Alex Kasirye eyafa mu Febwali 2012 nga mpeereza nga omumyuka we. Bwe yafa ne nkola nga Acting Katikkiro, olwo mu 2013 ne balonda Katikkiro omupya Omw. Festo Lwanga Sseruwagi nze nensigalayo nga omumyuka wa Katikkiro okumala ebbanga lino lyonna.

Nze nga omumyuka wa Katikkiro, buno bwe buvunaanyizibwa bwange:

4). Nze nvunaanyizibwa ku ntambula za Jjajja ffe Omutaka Kyaddondo.

5). Nze ntuukibwako ennyimbe n’okuwa ab’ennyimbe amabaluwa agabakkiriza okuzaabya.

6). Nze nvunaanyizibwa okusookayo mu nnyimbe Jjajja gy’anaagenda.

7). Nze nvunaanyizibwa okulungamya ebigenda mu maaso mu nnyimbe, nga okuteekako abasika n’emikolo emirala.

8). Nga nze nvunaanyizibwa okukwanaganya abamasiga bonna, okutawulula enkaayana mu bazzukulu bwe baali nga tebannateekawo kooti ya kisekwa ey’ekika.

9). Okukwanaganya emirimu ne Katikkiro wamu ne Jjajja ffe Kyaddondo.

10). Okulungamya empandiika y’olulimi Oluganda we kyetaagisa.

11). Nawandiika ekitabo ekifa ku kika ky’e Nvuma kye naawandiika mu 2015 ekyaliko omutwe ogugamba nti:
“Ebitonotono okubatuusaako ebifa mu kika ky’e Nvuma.”

Ebyo n’ebirala bwe buweereza bwange mu kika era neebaza nnyo enkolagana eriwo wakati wange ne Jjajja ffe Kyaddondo, Katikkiro wamu n’abamasiga bonna era n’abazzukulu bonna, nga seerabidde omumyuka wange Omw. Lawrence Lugoloobi (DK2)

Ekika ky'e Nvuma

Ekitiibwa

Omutaka

Ssaza

Kyaddondo

Obuvunaanyizibwa

Okulungamya ekika

Ensibuko

Bubembe, Ssese