Nsooka okwebaza Katonda olw’obulamu bwampadde n’ekiseera kyemaze nga mpeereza ekika kyange okuva ddala nga 23/08/2013; kati gy’emyaka kkumi n’ebiri (12) beddu.
Nsaasira abalwadde, abalwazizza era n’abafiriddwa abantu baabwe. Abafuniddemu ebirungi, Katonda yebazibwe.
Nebaze Jjaja Kyaddondo n’abamasiga abantekamu obwesigwa nebannonda ku bwakatikkiro okuyamba ku Jjajja Kyaddondo okuweereza bazzukulu be ab’e Nvuma.
Nebaza abamyuka bange Omwami Njalampandi Ignatius, ng’oyo ye mumyuka (D.K. I), n’Omwami Lawrence Lugoloobi, ng’oyo ye mumyuka wange ow’okubiri (D.K. II). Mbeebaza nnyo olw’enkolagana ennungi gyetulina mu office yaffe.
Nebaza enkolagana ennungi eri ab’amasiga bonna, ab’emituba, ab’ennyiriri n’ab’empya. Bebale nnyo okukuunga abazzukulu okwagala ekika kyabwe.
Nebazamu ak’ensusso eri D.K I, omwami gwe nassanga nga y’akuuma office yaffe eya Katikkiro oluvanyuma lw’eyali Katikkiro Alex Kasirye okufa. Yannyamba nnyo okuyiga emirimu; ssebo mwami Njalampandi nkwebaza nnyo.
Tumusabire nnyo kubanga yafuna ekirwadde ky’okusanyalala (stroke) era takyasobola kwetambuza; atambulira mu kagaali kyokka tumusubwa nnyo mu kika kyaffe.
Nebaza muganda wange D.K2 Lawrence Lugoolobi olw’enkolagana enungi era nsaba tugitwale mu maaso.
Era nebaza olukiiko lwaffe olw’okuntiko (Board of Trustees) olukulemberwa Jjajja Kyaddondo olw’okutulungamyanga mu nzirukanya y’emirimu gy’ekika.
Era nebaza olukiiko olukozi olukulemberwa Omw. Paulo Kikadde Mugambwa olutukoledde emirimu emingi gyemulaba wano kukasolya olw’okuzimba n’okuteeka enkulakulana ku kasolya.
Ate era nebaza olukiiko oluddukanya SACCO yaffe ey’ekika ekulemberwa Omwami Fabian Kasi, Managing Director wa Centenary Bank.
Nyongera okwebaza omuwanika w’ekika Omuky. Rovincer Nantaba webale kuwanika ensimbi z’ekika.
Nebaza ba Lawyer b’ekika Omw. Yusufu Mugambwa ne Omuky. Agnes Kawombe olw’okulungamya ekika mu nsonga z’amateeka era n’okuwolereza ekika.
Mu ngeri y’emu, nebaza Haji Ibrahim Gitta nga y’akulira eby’obuwangwa ne nnono mu kika atuwabudde nnyo mu ngeri ezo zombi.
Abakulira eby’emizanyo:
Omw. Jimmy Ssendagire ne ba kooki baffe:
-
Omw. Haruna Sseruwagi
-
Martin Lugoloobi
-
Sula Ssebbunza
Bakoze omulimu omulungi era twakola bulungi nnyo mu mipira egyaggwa era tusuubira okwongera okukola obulungi. Naye emipira gyetaaga sente nyingi bwe tuba twetaaga okuwangula engabo. Era tulina ne team y’abawala, eyo nno ekulemberwa Doreen Nankanja n’abayambi be bebazibwa nnyo. N’olwekyo abazannyi baffe abalenzi n’abawala mwebazibwa nnyo.
Tulina ekitongole ki “Nvuma Investment” ekikulemberwa Omw. Herbert Gitta nga amyukibwa Nalongo Zabali nga omuwanika ye Kasirye Rogers. Ekyo kyatandika dda n’okukola sabbuuni era ndowoza mumulabye nga awedde okupakinga mu domolera obwa liita ttaano (5) ne abiri (20) era beebazibwa nnyo.
Mu ngeri ey’ewenjawulo, nebazamu abazukulu bano: Omw. Fabian Kasi eyatuwa obutebe 500 era tetukyapangisa butebe; Omw. Kasirye Samuel, muzzukulu wa Mufumuula, ow’e Kasana eyatuwa entebbe eya Jjaja Kyaddondo n’eya Katikkiro.
Nyongera okwebaza bazzukulu ba Kyaddondo mwenna mu biti byamwe eby’enjawulo olw’omulimu omunene gwemutukolera nga muvaamu ensimbi nyingi zetukozesa okukulakulanya obutaka bwaffe.
Ebitusoomooza mu kika:
Twetaaga ebikozesebwa mu wofiisi zaffe tusobole okutuulanga wano ku kasolya, naddala:
-
Eya Jjaja Kyaddondo
-
Eya Katikkiro
-
Eya Chairman w’Olukiiko Olukozi
Tusobole okukola emirimu gy’ekika nga tukuuma n’ebiwandiiko by’ekika mu ntereka ey’omulembe era n’okubanguyiza ensonga zamwe nga mutusaanga mu wofiisi zaffe.
Nga maliriza, nziramu okubeebaza byonna bye mukolera ekika kyamwe. Tukuume enkolagana ennungi okuva ddala ku masiga okutuuka mu mpya zaffe.
Ssabasajja Kabaka Awangaale.