Tubaanirizza nnyo mu malamaga g’omwaka 2025. Wetutuukidde ku malamaga g’omwaka guno, nga Kawempe ali mu nkyukaakyuka ey’omuggundu. Wano tubeebaza mwenna abawagidde entekaateeka z’okukasolya.
Okulamaga lwelugeendo olukolebwa omuntu alina okukkiriza lwakola mukifo eky’okukkirizakwe. Kale naffe tukkiriza nti wano e Kawempe, ye nsibuko era y’entabiro y’enzikiriza yaffe mu kika ky’e Nvuma. Buli lwetulamaga wano, empewo zabajjajaffe zitufuuwako era netudda buggya. Wano wetuddiramu okwatula endagaano bajjajaffe zebaakola nga basaba olugendo.
Tetulema nno kujjukira era ne twebaza nga tutuuse ku lunaku bweluti. Era mukulike nnyo mmwenna bazzukkulu ba Kyaddondo. Okulamaga kw’omwaka guno kwetolooledde ku kujjukira ate n’okugeenda mu maaso anti olwaleero:
-
Twebaza n’okusiima bazzukkulu ba Kyaddondo abassukulumye mu kuweereza ekika mu myaka ekkumi egiyise.
-
Tujjukira abazzukulu abaawereza ekika mu myaka ataano n’okusiingawo. Ababadde e Kawempe okumala ekiseera banakkiriziganya nange nti kino ssinga twakikola dda.
-
Mu kugeenda mu maaso, twagala wofiisi zaffe tuziteekemu ebikozesebwa olwo kiyimuse obuwulize eri abazzukkulu. Twaniriza abo bonna abawaddeyo era n’abanawayo ku lw’ensonga eno enkulu ennyo.
Siyinza buteebaza abazzukulu abakazi abateeseteese omukolo gwaffe guno. Mwebale nnyo!!! Bajjajja abamasiga mmwenna ate n’abawereza abakulemberwa Katikkiro waffe nammwe tubeza olw’obuwereza n’okulungamya mu kika kyaffe.
Mbajjukiza nti omulimu gukyali munene era n’omwaka tugutandika nga tuli mu kaweefube w’okutuukiriza n’okutwala ekika kyaffe ku mutendera omulala. Buli omu afube okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwalina.
Nziramu okubaaniriza ate n’okubaagaliza omukolo omuluungi.
Mpaawo adduka, mpaawo adduka aliddayo ewa Kyaddondo.
Ssabasajja Kabaka awangaale.