Omukutu Omutongole ogw'Ekika ky'Nvuma

Ekika ky'e Nvuma

Obubaka okuva ew’omuwanika w’ekika Muky. Rovincer Nnantaba Mbalyowere

Nze Nantaba Rovincer omuwanika wamwe, ntwala omukisa guno okusookera ddala okwebaza Mukama olw’ekirabo eky’obulamu. Era neebaza Jjaja Kyaddondo, ba Jjaja abamasiga n’olukiiko olwokuntiko awamu nebazzukulu ba Kyaddondo mwenna nti mwebale kunteekamu bwesigwa okusobola nenkwata sente z’ekika. Nyongera okwebaza mwanyinaze Elisha nti twasobola okutambulira awamu munsonga zensimbi nga tuli bumu. Wadde nga Elisha yali muwanika omukulu nga mumyuuka, buli kimu kyatambuliranga kunze. Era wadde nga ebintu byensimbi sibyangu okusomoozebwa kwamaanyi naye sibadde mutitiizi mu myaka gyemmaze nga nkwata ensimbi zekika, ndi muntu atetiriirira, atava kumulamwa, atanyiiganyiiga, omumativu mumutima ate atya Katonda awamu nebajjajange era ebintu ebyo binyambye okukola obuwanika nga tewali nsasage yonna.

Wadde nga okusomoozebwa wekuli ng’era bwomanyi nti toyinza kusanyusa buli omu abamu baba balina ebigenderwa byabwe naye buli kimu mmanya bwenkikwata. Wano ndimusanyufu nnyo kuba emyaka gyemaze mu by’ensimbi Kawempe ayaka wadde nga tewali kyenasangawo ngatutuula mumiti naye kimu kati kirabika; lwaki sebaza! Era nsubibira mumaaso gyetulaga tujja kuba tetukyasoonda ssente eza bulikadde. Era nebikyakolebwa bingi katusabe Katonda wamu ne baJjaja nga Mugambwa, Mukasa n’abalala batusobozese Kawempe

Ekika ky'e Nvuma

Ekitiibwa

Omutaka

Ssaza

Kyaddondo

Obuvunaanyizibwa

Okulungamya ekika

Ensibuko

Bubembe, Ssese