Omukutu Omutongole ogw'Ekika ky'Nvuma

Ekika ky'e Nvuma

EMITUBA NGA ENTABIRO YENKULAAKULANA MU BIKA (Bya Dr Ssemaluulu Paul Lusuundo)

ENSENGEKA Y’EBIKA MU BUGANDA

❖ Akasolya gwetunderda ogugatta emitendera gyonna emirala era agukulira ye Jjajia ow’akasolya, nga bwoova kwoyo ozzaako Ssaabataka, ono nga ye Kabaka.

❖ Awo tuzzaako essiga, nga tudda wansi. Ab’amasiga be baana abakulu abo’wakasolya.

❖ Okwo tuzzaako omutuba. Ab’emituba be baana abalenzi abazaalibwa ab’Amasiga. Kino kitegeeza nit bano be bazzukulu b’owakasolya abakulu.

❖ Okwo tuzzaako olunyiriri. Ab’enyiriri be baana abalenzi abazaalibwa ab’emituba.

❖ Okwo tuzzaako olugqya. Ab’empya be baana abazaalibwa ab’ennyiriri.

❖ Tusembyaayo enju. Enju yeeyo mwozaalibwa naye eyawukana ku maka kuba enju eba yakifundikwa.

MU BUFUNZE:

Enju yeekuyunga ku lugqya, olugqya ne lukuyunga ku lunyiriri, ate olunyiriri ne lukuyunga ku ku mutuba, awo omutuba ne gukuuyunga ku ssiga, olwo essiga ne likuyunga ku kasolya, okuvaawo nga akasolya kakuyunze ku Ssaabataka (Kabaka).

OW’OMUTUBA YAANI?

Nga bwe tulabye wagqulu, mu kika tulina emitendera eqy’enjawulo okuva ku kasolya, ku masiga, emituba, ennviriri, empya, ne nnyumba.

Mu Kika kye Nvuma, Kyaddondo ye wa Kasolya.

Tulina amasiga kkumi nalimu (11) nga wansi wa buli ssiga tulina emituba.

Okugeza, emituba egimannyiddwa mu ssiga lya Kasiriivu e Nnangabo giri kkumi namukaaga (16) naye nga egitambula giri kkumi (10). Ate mu kika tulina emituba kyenda mumwenda (99). naye nga egitambula giri nkaaga (60).

Ow’omutuba ye muzzukulu asooka okuva ku Kyaddondo. Omukwaano ogubeera wakati wa Jjajja n’omuzzukulu nammwe mugumanyi bulungi.

Mu nvambika y’obuvunaanyizibwa, ow’essiga talina buyinza era talagira, alambika bulambisi. Naye ow’omutuba alina obuyinza era alagira ab’ennyiriri okutereeza ennviriri zaabwe nga batuuza enkiiko, okuwandiika abazzukulu mu nnyiriri zaabwe, n’okwenyigira mu mirimu n’emikolo gy’ekika.

Ow’omutuba talina kukwaata buyinza n’abukozesa kwekkusa na kutulugunya balala, wabula alina okulumirirwa abalala. Era alina okuba n’obweetowaze, ssikweezinga naye kussa ekitiibwa eri oyo atayinza kukyuusa bulamu bwa wa mutuba (abali wansi we).

Ow’omutuba tabuuka, abeera n’obuvunaanyizibwa, abeera mwesimbu. Era ow’omutuba alina okubeera n’olukiiko olufuzi olujjuvu nga kuliko katikkirowe kibe nti nga tagenze mu nkiiko, gw’atuma. Wabula alina okwewala okutumatuma ennyo.

Katikkiro ayita enkiiko era n’azikubiriza nga agezaako nnyo okuwuliriza abalala. Talina kuggwaamu maanyi, wabula alina okukozesa amazima awamu n’okukuuma ebiseera. Alina okuyiga okwenenya, n’okwetonda nga teyekangabiriza era alina okukuuma olulimi nga ayawula ekirungi ku kibi. Alina okubeera omunviikivu ku mirimu kuba okukola tekutta.

Nga omukulembeze yenna, katikkiro abeera muwulize eri abamutwaala. Era bwaba ayagala bakulembera bamwagale alina okusooka okubaagala kuba okukuwulira osooka kuba muwulirize ate okufuna olina okugaba.

Buli Mwaaka ow’omutuba yandisisinkanye bazzukulu be emirundi esatu era n’abagabula.

1). Ennyiriri n’abazikulembera

Ow’omutuba alina okumanya ennviriri mmeka z’alina mu mutuba gwe.

Buli mwaka alina okukyaalira buli lunyiriri wakiri omulundi gumu, newabawo okumanyagana n’okusondayo ku ssente eziyamba omutuba ate endala nezigenda ku ssiga.

Buli lunyiriri lulina okuba n’olukiiko olufuzi nga lulina ssentebe n’emitendera emirala. Lulina okutuua enkiiko waakiri ssatu omwaka.

Ow’omutuba alina okufuna enkalala z’abazzukulu abali mu buli lunyiriri ng’alagira omukulu w’olunyiriri okumuweereza olukalala olwo buli nkomerero ya mwaaka. Kino Jjajaiffe Kyaddondo yakisimbako nnyo amannyo, anti tetuyinza kukaayana ku bungi bwaffe (population) nga naffe ffennyini tetweemanyi.

2). Embuga z’Emituba

Buli mutuba gulina okuba n’embuga yaagwo. Okugeza omutuba gwa Lusundo Nnabulege, embuga yagwo eri Sewampaka, era gye gwasimbibwa.

Kyaalibadde kirungi buli mutuba guzimbe ekakkakalabizo ku mbuga yaagwo, emirimu gireme kugitambulizibwa mu Brief Case. Baalugera nti; “nannynini kiggwa, y’akiweebuula ng’akiriiramu emmwaaanyi”. N’olwekyo, ab’emituba bangi bawambye embuga z’emituba nebazigabira abaana baabwe. Ate abalala, bwaba nga wabeera, tannyonnyola baanabe, nabazzukulube nti wano ssi waabwe. Bwamala okuzaama, ze ntalo z’owulira n’okuwanyisiganya ebisongovu.

3). Enkalala okuva mu mpya

Buli mukulu wa luggya aweerezenga olukalala lwa bazzukulube nga lulambise bulungi jiajia, omuzadde, kko n’abaana be yazaa la. Olukalala luno luweerezebwenga eri omukulu w’olunyiriri asobole okukola olukalala lw’anaweereza ku mutuba. Omulimu guno omukulu woluggya alina kugweenyigiramu butereevu okwewala ensowole.

4). Enkiiiko z’emituba

Nga bwe twaalabye, buli mutuba gwandituuziza enkiiko waakiri ssatu buli mwaka. Buvunaanyizibwa bwa katikkiro w’omutuba okuyita, era n’okukubiriza enkiiko zino.

Katikkiro, ng’akolagana ne ssentebe w’omutuba akolenga enteekateeka y’omwaaka, ssaako n’okutegeka enkyaala ez’ow’omutuba.

Buli wa lunyiriri bwaba ayagala okukyaaza oba okulaba ow’omutuba, ayitenga wa katikkiro.

Ebikwaata ku ssente byonna, tebiyisibwanga wa wamutuba, wabula zigende butereevu ew’omuwanika, ye yanategeezanga ow’omutuba ssente ezisasuddwa n’emitemwa kwe zisasuliddwa.

Kyandibadde kirungi buli mutuba negubeera ne ACCOUNT mu bank, kwebakunganyiza ssente ezikola emirimu gy’ekika.

5). Okulambula ennviriri

Nga bwe twalabye waggulu, ow’omutuba alina okulambula buli lunyiriri wakiri omulundi gumu buli mwaaka.

Buli wa walunyiriri ng’afunye okumanyisibwa okuva eri katikkiro w’omutuba anategekanga okumanyagana mu lunyiriri lwe era ku butaka bwe. Alina okusaba bazzukulube okumukwasizaako ng’akyaaza ow’omutuba.

OKUWUMBAWUMBA

Kati kitegerekese nti mu mitendera gyonna omukaaga (6) egiri mu kika, omutendera ogwaakwaasibwa obuyinza n’obuvunaanyizibwa, gwe mutendera ogwokusatu, ogw’omutuba.

N’olweekyo okusinziira ku buyinza n’obuvunaanyizibwa ebiwebewa ow’omutuba, alina okwejuuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa buno.

Mu ngeri eno, ab’emituba nebalyokka bafuuka entabiro yenkulakulana mu kika.

EBIFA KU MUKUNGAANYA

Paul Ssemaluulu Mukasa Lusundo (PhD),

Ye mukulu w’omutuba gwa Lusundo Nnabulege e Sewampaka,

Era Omukubiriza wa b’e Mituba mu Sisiga Iya Kasiriivu e Nnangabo ate ne mu Kika kye Nvuma kyonna.

Ekika ky'e Nvuma

Ekitiibwa

Omutaka

Ssaza

Kyaddondo

Obuvunaanyizibwa

Okulungamya ekika

Ensibuko

Bubembe, Ssese