Ntwala omukisa guno okubalamusaako. Nze Mugambwa Paul Kikadde Nkolotenyigwa Monde Kabenge Luzungana Nnaggenda. Nga nze Ssentebe w’olukiiko olukozi okumala kati emyaka etaano. Nga sinabeera ssentebe, nze nnali omumyuka wa ssentebe eyasooka, Mw. Fabian Kasi, bweyawummula nenoondebwa okubeera ssentebe omujjuvu.
Nga nkyali omumyuka wa ssentebe, nawebwa omukisa okukulemberamu akakiiko akazimbi era wano namanyika nnyo nga Mwami Baati. Kale nno, bwe nku nnyonnyola gyenvudde w’ekika naddala kukasolya ensonga mba nzimanyi era nga nzibadde wakati.
OKUTTAANYA ENKOLA Y’OKUMANYAGANA
Tetwalwa netugunjaawo enkola eyokukyaliragana era ekiseera bwekayyitawo twali buli omu amanyi gyetwavanga okugenda kukasolya okuteseza ekika kyaffe; olaba twatuukako e Mbale mu Bugishu ne e Kabunyata mu Bulemeezi kale wamma twalambula banaffe!
Wano twassawo enkola ey’okuvuganya kubuli mutendera era amadirisa nenzigi byagulibwa mukuvuganya kuno. Naye kiba kirungi okwebazamu bano wammanga akensusso:
❖ Muhammed Gqita (Old man), yatuwa olugqi lwa wankaki;
OMUKUTU GWEMPULIZIGANYA
Twatandikawo omukutu ogwatuumbiwa ‘Nvuma Working Committee’ fena kwetwandikira okwewuliziganyiza era gwongedde nnyo obumu mu ffe wadde nga waliwo banaffe abaguvvoola naye nga gubadde gukoze kinene nnyo okutugatta mukika kyaffe.
❖ Martha Mnakabenge, yatuwa oluggi oluva mu office ya Jaja Kyaddondo okuyingira mu kisenge ekinene;
❖ Ibrahim Gqita, yatuwa oluggi olwawula wofisi ya Jaja Kyaddondo kuzabalala;
❖ Neffena abawayo twebazibwa nnyo nnyo ddala.
OKUGUNJULWA MUBY’OBUKULEMBEZE
OKUTUMBULA OBUMU MUFFE
Nga tukwasiza wamu tusodde okuba obumu munsonga z’okufriwa, okwayba enyimbe era nembaga nga byonna tusonda awatali kwekaanya. Wanno, neebaza buli afaayo mukusonda.
Munkola yemu tusimiddemu banaffe banji abazze nga bawagira entekateeka zekika era nkakasa banji ebaluwa ezo bazirina.
Ekiseera kino kitumbudde nnyo abazukulu muby’obukulembeze era n’obuwulize mu kika; kubanga bangi ku ffe tusuumusiddwa ku madaala mu kika okugeza, kati nze, Kikadde, nalondebwa okuba Katikkiro w’e ssiga lya Kasiyye e Naggyo era omu ku bayima abato eb’ekika. Ate ne Mw. Lugolooibi Lawrence naye yalondebwa ku bwa Deputy Katikkiro amanyidwa ennyo nga (DK2), ne Mw. Sekagya Katagala Lule yalondebwa nga om uku bayima b’ekika abato ate nga ye muwandiiis w’olukiiko lwabayima b’ekika. Kale wano twebaza nnyo ba jjaja ffe olwokutulabamu obusobozi obwo.
OKUZIMBA WOFIISI NE NEKISENGE EKINENE
Nga tuyita munkola ye ‘baati’ twasonda ssente netusereka wofisi ye kika era netugeenda mumaaso n’okusonda okusobola okuzimba ekisenge ekinene (hall) era n’okukisereka. Wano, njagala okwebaza ennyo omugenzi Eng. Ssendgire Steven olwebiseera byeyawayo nga tukola kubizimbe ebyo era tusaba Mukama amuwummuze mirembe.
EBIKOLEDWA MU KISEERA KINO
Nga bwenannyonyodde, bino wammanga tubyenyumirizamu nnyo:
WOFIISI N’E KIZIMBE EKINENE
Omwaka 2013 wegwatuukira, nga ba jjajaffe balwanagana nokuziimba ebizimbe eby’omulembe ku kasolya. Wano Katonda weyabazibulira amasso nebatondawa olukiiko olukozi nga lulabilirwa Katikkiro.
Obukiiko obwenjawula bwatondebwawo naye nga akakiiko akazimbi ko kaali, era kakvali, kankizo nnyo mu kukulaakulanya akasolya era bonna abakaliko bewayo nnyo okulaba nga walagibwawo enjawulo okuwa wekakwasibwa omulimu gw’okuzimba. Kyaddala ensimbi zakunganyizibwnga okuva mu nyimbe, embaga, okukyalilagananga era n’okusonda nga tukunganyeko wamu era zawera ate nezikozesebwa buluungi ddala. Kakati tulina kyetulagawo nga kati tulubiliira kuteeka bizimbe byankulakulana kubutaka okusobola okulekera awo okusolozanga buli lwetulamaga.
Kyamazima, Eng. Ssendagire Steven(RIP) yatubeererawo nnyo osanga twandibadde nakati tukyazimba era nsaba Mukama amutuweree ekiwummulo eky’emirembe. Mwena mujukira obusolya obwavuundira wansi nga amagezi gatwesibye naye Ssendagire bweyajja ensonga netambula bukwakku. Nzijukiralumutwasondassente zamabaati naye abakulu nebasabibwa omutemwa e Mengo ate nga tebalina webazigya mu bwagu, kwekujukkira nti Mw. Baati alinayo akasente ku akawunti era nebajjayo akakadde kamu naye nga tebantegezeezaako; anti ssaali wakukkiriza ku zibawa. Omukolo bwegwagwa nenkimanyako, nange nagambirawo omuwanika, Lugoloboi Elisha, okujjayo ssente zonna ne tuzitwala mu Roofing tuzigulemu amabaati era netugateeka mulukubo lwa office block nga buli eyajjanga nga tumulaga mabaati naye nga account nkalu. Abantu basanyuka nnyo neboongera okutuwa ssente.
BBUGWE OKWETOLOOLA OBUTAKA BWONA
Nga okuzimba munda kuwedde, kyazuilibwa nti ab’ekvalo bajjanga nebeyambisa bubi ekitundu kyaffe era neboonoona ne’bimu kubvali bikoleddwa. Olukiiko bwerwatuala nelusalawa tusse bbugwe okwetoloola ekifo kyonna era ssente zaasoodnebwa bbugwe nateekebwako kati ‘tuliisa buti’ nga abenvuma abali mu kibuga wakati. Kale mwebale nnyo okuwagira enkulakulana eyo anti n’abasaatuusi twabawona.
OKWETEGEKERA OKULAMAGA OKWA BULI MWAKA
Ensonga eno twagitwala nga nkulu era n’elondebwako ssentebe waayo agitembeeta buli mwaka ng’ono ssimulala wabula ye muzukulu wa Jjaja Kasiriivu e Nangabo omwami Ssendagire Rajjab (Tamu Taamu). Omulimu guno agukoze bulungi ddala era nga awaayo obudde n’ebisera okutuukiriza nga abeera kukasolya okutuusa enkuuka lwegqwa, Tamu Tamu webale nnyo okwagala ekika kyo.
KABUVONJO EZ’OMULEMBE
Nga wofisi n’ekiziimbe ekinene biwedde, munajjukira nti twalina kabuyonjo ey’ekinnya nga eriraanye ekiziimbe ekinene; era nga tetuukana na ndabika ya kifo kyaffe; awo muzzukulu wa Kasiyre e Nnagyo omwami Kasiyre Med yawayo nnyo obudde ne ssente ze okulaba nga wakiri kaabuyonjo eyo ebeera nyonjo naddala nga waliwo enkuuka, ssebo webale nnyo okukulemberamu omumuli gwobuyonjo mu kika kyaffe. Wano olukiiko lwayisa ekiteeso eky’okuziimba kaabuyonjo ey’omulembe era ssente zaasondebwa nezimbibwa. Wano nebaza frena abaawayo omuwendo olwensonga eyo kati mu bika bya Buganda twogerwako era twebuuzibwako olwomutindo gwetwolesa era nengeri gyetukikolamu.
ENYUMBA YA MUGAMBWA
Nga twakadda e Kawempe mu 2013 twategeezebwa nti jjaaffe Mugambwa yali asula ku lusoz i okwo nti era yalinaw o n’enyumba mweyasulanga naye emirembe gyageenda giyitawo neegwa. Kale nga fena abateesa, awamu ne jjaaffe Kyaddondo, twasalawo enyumba eyo eddizibwewo era wempandikira bino nga enyumba yaddizibwaw o era fena tugimanyi nga Mugambwa. N’olwekyo, bwetwogera ku Mugambwa tuba tetutegeeza ssabo naye enyumba ey’obujjaja .Wano omulongo Waswa Lwetute n’omumbowa Kabenge mwebazibwamu akensusso anti mwasibaangawo era nemusulawa nga ezimbibwa.
Era nsuubira nti mu bbanga eritali lyewala enyumba endala zijja kuzimbibwa era nazo ziwebwe amannya gazo okusinziira ku bannyinizo.
OKUFUNA OBUTEBE
Obutebbe yali efuuse nsonga buli mwaka nga baati taweeza bazzukulu nga bakungaanye ku nkuuka. Naye bwerwali olwo era naatandika ebigambo bye obyokusabiriza obutebe. Wano, muzzukulu wa Sekagya e Bumbu, era nga ye w’omutuba gwa Lwetutte, Fabian Kassi, yesowolayo nabuuza Mw Baati obutebe bweyali ayagala era kulunaku olwo nabusasula namugoba mu ddiiro era tetusuubira Baati kuddamu kusaba butebe; Fabian webale nnyo webalire ddala. Wabula nga obwo tebunafunika njagala okwebaza fena abaasoonda obutebe obwasooka kubanga bwebwatutusa kulunaku olwo; anti kamukamu …
JJAJA KYADDONDO NE KATIKIKRO BAFUNA ENTEBE
Nga okuziimba kuwedde, waliwo omuzzukulu omu nga ye Kasiyre Samuel okuva mu ssiga Iya Mufumuula e Nnyimu, Kyagwe eyalaba nga jjaaffewamu nekatikkiro we baali tebalina ntebe zibajaamu. Kale yatwala omukisa ogwo nababajjira entebe ez’omulembe; wano Kasiyre webazibwa nnyo nnyo ddala era naffe abalala tukole bwetutyo.
OKUSIIMBA EMITI
Mu nkola y’okuwagira okuzzaawo obutonde bwensi, twasiimba emiti egyabuli kika okwetolola obutaka bwaffe. Wano nebaza nnyo omukyala Yayeri Nanvuma nga ono muzukkulu wa Kasiyre e Nnagyo mu mutuba gwa Kimonde, eyagula emiti nagyetika okuva e Buziika, Njeru Kyagwe, nagituusa wano kubutaka ffe netumwegattako okugisimba, Nyabo nkimanyi nti ojja kujukirwanga olw’ensonga eyo neffena abaasiimba emiti egyo twebazibwamu akensuso era mubbanga tono Kawempe ajja kuba nemiti ginasangwa era nga kyabulambuzi mu kibuga wakati.
OKUSIIMBA OLUSUKU
Ntwala omukisa guno okwebaza DK2, Omw. Lawrence Lugolooki, eyassaamu ennyo amaanyi olusuku nelusiimbibwa okwetoloola obutaka bwaffe. Mbategeeza nti ebiseera ebisiinga tulya ekayemisana nga kya matooke getugya mu lusuku lwaffe era mbasaba mutuwagire nnyo nalwo lwongere okutojiera.
OKUTEKATEKA SIPOTISI GGALA
Oluvanyuma lw’okwetaba mu byemizanyo nga tetulina wetulaga, twawebwa amagezi, DK2 mwami Lugolooki Lawrence, okuziimba abazzanyi abawala n’a balenzi nga tubajia wansi mu masiga gaffe era tutegekewo okuvuganya. Ensonga eno twagissa munkola era sipotisi ggala netegekebwa nga amassiga gano gegetabamu:- Kasiyre e Nnagyo, Sekagya e Bumbu, Walugumba e Ttomi, Mufumula e Nyimu, Ggitta e Nansangwa ne Ggugu e Bubembe
Webyaggwera nga Kasiyre ekikopo kyabalenzi akitutte ate Ggita nga attute eyabawala era nemidali gyagabibwa eri abo abaali basiinze bannaabwe. Wano njagala okwebaza ennyo abatesitesi nga Kasiyre Rogers Ggittabawanvu, Omuwanika Rova, Mukyala Mukongozi Doreen Beeka Mbekeka Nankanja, Coach Haruna Sseruwagi , Coach Martin Lugolooki, Ggitta Wilson, Ssenga Hajjati Sarah Nalunga, Omukulu Ibrahim Ggitta e Bumbu; era neffena abaawayo ensimbi okuvujjirira ensonga eno. Kyasalibwawno nti Sipotisi Ggala ejjanga kuba yabuli mwaka ku kalenda y’ekika, kale wano wembasabira mweteeketeeke nga bukyali.
OKUSSA AMASANYALAZE MUKIZIMBE
Nga okuzimba kuwedde kyali kyetagisa okuteeka amasanyalaze mu kizimbe kyaffe. Wano ntwala omukisa okwebaza ennyo muzzukulu wa Ssakagya e’Bumbu, Kasiriivu Ronald, eyakola ennyo nassa amasanyalaze wonna nga tetumuwadeyo wadde ennusu emu bweti; kale laba omutima gw’obwagazi bw’ekika!
OKUMEZESA E NVUMA
Wano twebaza Omw. Kasirye Arthur Solomon Gavamukulya olw’okumezesa eNvuma ekvasobozesa abazzukulu olaba omuziro gwabwe nga ekimera ate eddagala.
NVUMA INVESTMENT CLUB
Twatandikawo Nvuma Investment Club era nga buli member assasulayo emitwalo 120,000 okugyegateko nga kino kiruubirira kujia bazukulu ba Kyaddondo mu bwavu. Ekibiina kino kyatandika okukola emirimu gino: okutunda endokwa ze mwanyi awamu n’okukola sabbuuni (Liquid Soap). Era kisuubira n’okukola ebintu ebirala biingi mumaaso eyo. Wano wembasabira mu tweyungeko olw’enkulaakulana muffe era ne mukika.
AMASIGA N’ABAKULEMBEZE BAAGO MU KIKA KY’E NVUMA
Twafulumyayo ebitonotono ebikwata ku massiga n’obukulembeze bwago mukiseera kino era nga byebino wamanga.
Amasiga N’abakulembeze Bago Mukika Ky’e Nvuma 2022
| NO. | ESSIGA | ALIKULEMBERA | KATIKKIRO |
|---|---|---|---|
| 1. | Walugumba e Ttomi, Kyaddondo | John Bosco Ssendagire | Omuloongo Wasswa Cosma Kasirye |
Emituba Mu Siga Lya Walugumba
| NO. | OMUTUBA | AGUKULEMBERA |
|---|---|---|
| 1 | Sserubiri e Kayanga, Kyaddondo | Masagazi Fred |
| 2. | Wambuzi e Kawaala, Bulemezei | Lugoloboi John. |
| 3. | Ssempanda e Bunsule, Bulemezei | Mitodio Kibuuka |
| 4. | Muwule e Mabombwe, Busiro | Ssalongo Ggitta Silveyer |
| 5. | Zinga e Bukeedo, Bunsule | Kabenge Charles |
| 6. | Muwakanya e Ssingo | Ssemalulu Mathious |
| NO. | ESSIGA | ALIKULEMBERA | KATIKKIRO |
|---|---|---|---|
| 2. | Kasirye e Nnagyo, Kyaddondo | Ssekagya Harruna | Mugambwa Kabenge Kikadde Paul Nkolotenyigwa Nnaggenda Monde |