Jjaaja Kyaddondo Kasirye Mbugeramula Atanansi, Katikkiro, bajjajja ab’amasiga, ab’emituba, ab’ennyiriri, ab’empya, n’abakyaddondwa mmwenna, abaami n’abakyala, abato n’abakulu.
Kimpa essanyu okubayozaayoza mwenna abatuuse ku lunaku luno olwaleero, olwamalamaga ga ba Kyaddondwa ku butaka bwabwe e Kawempe. Neebaza Jjajja Kyaddondo n’abazzukulu bonna abagala ekika kyaffe, abakivugirira entakera, n’abonna abalina kyebakoze okulaba nga olunaku luno lufaanaana bweruti.
Omubala gwaffe:
“MPAAWO ADDUKA, MPAAWO ADDUKA (OKULWANA) ALIDDAYO EWA KYADDONDO” gulaga bajjajjaffe baali balwanyi nnyo okugeza, Lule e Nangabo anti yatta abalabe ‘kasiriivu’, abamanyi akasiriivu (100,000) olwo naafuna erinnya KASIRIIVU. Jjajja Ggita e Nansangwa ne Kabembula nabo baali balwanyi banamige. Naanyumyaki naleka ki?
Omwaka guno tutambulidde ku mulamwa ogugamba nti:
“Wagira akasolya, onyweze ekika kyo.”
Ffena tumanyi nti nebwebeera nnyumba, akasolya nga kagumu, embuyaga nebwejja oba enkuba, abali munda tebatoba. N’olw’ensonga eyo nsaba tugeende mu maaso n’okuwagira emirimu gy’ekika ku mitendera gyonna nga tudduukirira emiramwa awamu n’emiranga egigendereddwa okukulaakulanya ekika.